Titus 2

Enjigiriza Entuufu

1 aNaye ggwe yogeranga ebyo ebitayawukana na njigiriza entuufu. 2 bKubirizanga abasajja abakulu babe bateefu, abassibwamu ekitiibwa, abeegendereza, abajjudde okukkiriza, okwagala n’okugumiikiriza.

3 cAbakazi abakulu nabo bakubirize bw’otyo babe n’empisa ezisaanira abantu ba Katonda, nga tebawaayiriza, era nga tebatamiira, wabula nga bayigiriza ebirungi, 4balyoke basobole okugunjula abakazi abato okwagalanga ba bbaabwe awamu n’abaana baabwe. 5 dEra babenga beegendereza, era abalongoofu, era abakola obulungi emirimu mu maka gaabwe, era abawulize eri ba bbaabwe, ekigambo kya Katonda kiremenga okuvvoolebwa.

6 eN’abavubuka bakubirizenga babe beegendereza, 7 fmu bintu byonna, ng’obeera ekyokulabirako ekirungi mu byonna by’okola, ng’oli mwesimbu era assaayo omwoyo mu kuyigiriza kwo. 8 gBuli ky’oyogera kiteekwa okuba nga tekiriiko kya kunenyezebwa, oyo awakanya alyoke aswale, nga talina kibi kya kukwogerako.

9 hEra kubirizanga abaddu bawulirenga bakama baabwe era babagonderenga mu byonna, nga tebabawakanya, 10 iwadde okubabbangako ebyabwe. Wabula babenga beesigwa ddala mu byonna, nga beeyisa bulungi, abantu balyoke bayaayaanire okuyigiriza kwa Katonda Omulokozi waffe mu buli ngeri yonna.

11 jKubanga ekisa kya Katonda ekireetera abantu bonna obulokozi kirabise, 12 kera kituyigiriza tuleke obutatya Katonda, n’okwegomba kw’ensi, tulyoke tube beegendereza, abatuukirivu abatya Katonda nga tuli mu mulembe gwa kaakano; 13 lnga tulindirira olunaku lwe tusuubira, n’okulabika kw’ekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo; 14 meyeewaayo ku lwaffe, alyoke atununule mu bujeemu bwaffe bwonna, era yeerongooseza eggwanga ery’envuma, erinyiikirira ebikolwa ebirungi. 15Ebyo by’obanga oyigiriza abantu. Buuliriranga era nenyanga n’obuyinza bwonna. Omuntu yenna takunyoomanga.

Copyright information for LugEEEE